Ensuula 2

1 kale iwe, mwana wange, bbanga wa maani mu kisa ekiri mu kristo yesu. 2 era bye wawuliranga gye ndi mu bajulizi abangi, ebyo bigisisyenga abantu abeesigwa, era abalisaanira okwegeresya n'abandi. 3 bonaboneranga wamu nanze ng'omulwani omusa owa kristo yesu. 4 wabula mulwani bw'atabaala eyeeyingizya mu bizibu eby'obulamu buno, kaisi asiimibwe eyamuwandiikire okubba omulwani. 5 naye era omuntu bw'awakana, taweebwa ngule bw'atawakana nga bwe kiragirwa. 6 omulimi akola emirimu kimugwanira okusooka okutwala ku bibala. 7 lowooza kye ntumwire; kubanga mukama waisu yakuwanga okutegeera mu bigambo byonabyona. 8 ijukira yesu kristo, nga yazuukiire mu bafu, ow'omu izaire lya dawudi, ng'enjiri yange bw'etumula: 9 gye mbonaboneramu okutuusia ku kusibibwa, ng'akola obubbiibi; naye ekigambo kya katonda tekisibibwa. 10 kyenva ngumiikiriza byonabyona olw'abalonde, era bona kaisi bafune obulokovu obuli mu kristo yesu, wamu n'ekitiibwa ekitawaawo. 11 ekigambo kino kyesigwa nti kuba oba nga twafiire naye, era tulibba balamu naye 12 oba nga tugumiinkiriza, era tulifuga naye: oba nga tulimwegaana era naye alitwegaana ife: 13 oba nga tetwikirirya, iye abba mwesigwa kubanga tayinza kwebbeya. 14 ebyo obibaijukiryanga, ng'obakuutirira mu maiso ga mukama waisu, obutalwananga na bigambo ebitagasa, ebikyamya abawulira. 15 fubanga okweraga ng'osiimibwa katonda, omukozi atakwatibwa nsoni, abitya wakati ekigambo eky'amazima. 16 naye ebigambo ebibulamu ebitali bye idiini obyewalanga: kubanga balibitirira mu butatya katonda, 17 n'ekigambo kyabwe kirirya nga kookolo (eibbwa): ku abo niiye kumenayo ne fireeto; 18 kubanga baakyama mu mazima, nga batumula ng'okuzuukira kwamalire okubbawo, era waliwo abantu be baafundikire okwikirirya kwabwe. 19 naye omusingi gwa katonda omugumu gubbeerawo, nga gulina akabonero kano nti mukama waisu amaite ababe: era nti yeewalenga obutali butuukirivu buli ayatula eriina lya mukama waisu. 20 naye mu nyumba enene temubbaamu bintu bya zaabu na bya feeza byonka, naye era n'eby'emisaale n'eby'eibumba; n'ebindi eby'ekitiibwa, n'ebindi ebitali bye kitiibwa 21 kale omuntu bwe yeerongoosyaku ebyo, yabbanga kintu eky'ekitiibwa, ekyatukuziibwe, ekisaanira omwami okuweerezanga ekyalongooserezeibwe buli mulimu omusa. 22 naye okwegomba okw'omu buvubuka okwewalanga naye osengereryenga obutuukirivu, okwikirirya, okutaka, emirembe awamu n'abo abamusaba mukama waisu mu mwoyo omulongoofu. 23 naye empaka egy'obusirusiru era egy'obutegeresebwa ogirekanga, ng'omaite nga gizaala okulwana. 24 naye omuwidu wa mukama waisu tekimugwanira kulwananga, wabula okubbanga omwikaikamu eri bonabona, omuyigiriza, omugumiinkiriza, 25 abuulirira n'obuwombeefu abawakani, koizi oba nga katonda alibawa okwenenya olw'okutegeerera dala amazima, 26 era balitamiirukuka okuva mu mutego gwa setaani, oyo ng'amalire okubakwatisya okukolanga okutaka kw'odi.