Ensuula 8

1 Naye ku ebyo ebiweebwa eri ebifaananyi: tumaite nga tulina fenafena okutegeera. Okutegeera kwegulumizisya, naye okutaka okuzimba. 2 Omuntu bw'alowoozanga ng'aliku ky'ategeire, nga akaali kutegeera nga bwe kimugwanira okutegeera; 3 naye omuntu bw'ataka Katonda, oyo ategeerwa iye. 4 Kale ku kulyanga ebiweebwa eri ebifaananyi, tumaite ng'ekifaananyi ti kintu mu nsi, era nga wabula Katonda ogondi wabula omumu. 5 Kuba waire nga waliwo abayeteibwe bakatonda, oba mu igulu, oba mu nsi; nga bwe waliwo bakatonda abangi n'abaami abangi; 6 naye gye tuli waliwo Katonda mumu, Itawaisu, omuva byonabyona, feena tuli ku bw'oyo; ne Mukama waisu mumu, Yesu Kristo, abbesyawo byonabyona, era atubbesyawo ife: 7 Naye okutegeera okwo kubula mu bantu bonabona: naye abandi, kubanga baamanyirira ebifaananyi okutuusia atyanu, balya ng'ekiweweibwe eri ekifaananyi; n'omwoyo gwabwe, kubanga munafu, gubba n'empitambiibbi. 8 Naye ekyokulya tekitusiimisia eri Katonda: era bwe tutalya tetuweebuuka: era bwe tulya tetweyongeraku. 9 Naye mwekuumenga koizi obuyinza bwanyu obwo bulekenga okubba enkonge eri abanafu. 10 Kubanga omuntu bw'akubona iwe alina okutegeera ng'otyaime ku mere mu isabo ly'ekifaananyi; omwoyo gw'oyo, bw'abba nga munafu, teguliguma okulya ebiweebwa eri ebifaananyi? 11 Kubanga omunafu abula olw'okutegeera kw'ow'oluganda Kristo gwe yafiriire. 12 Era kityo, bwe mwonoonanga ab'oluganda era ne mufumita omwoyo gwabwe, bwe gubba nga munafu, nga mwonoona Kristo. 13 Kale, oba ng'ekyokulya kyesitazia mugande wange, tinalyenga nyama emirembe gyonagyona, ndekenga okwesitazia mugande wange.